Abayingira mu nnyumba ya Land Loodi nga tabawadde lukusa basindikiddwa e Luzira, Bano bajingirira ne lisiiti z’obupangisa.

muguladan2024@gmail.com
4 Min Read

Abayingira mu nnyumba ya Land lord nga tabawadde lukusa basindikiddwa e Luzira, Bano bajingirira ne lisiiti z’obupangisa.

19/6/2026

KIRA.

FRANCIS Otayi 43 ne Mary Adongo 30 nga bano bafumbo abatuuze b’e Kireka D mu Division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira batuyanidde mukaguli ka kkooti ento e Kira omulamuzi Winnifred Agelun  w’abasomedde emisango e satu egy’ekuusa ku bufere.

Denis Arinitwe nga Mutuuze w’e Kireka D gyalina amayumba g’abapangisa yaloopa abafumbo bano ng’abalanga okwesenza ku nyumbaye nga tabawadde lukusa kwosa okujingirira ebiwandiiko ebiraga nti bamusasula ensimbi nga ono agamba bano bamusaako emisango egy’enjawulo nga baagala okumujamu ensimbi okuli n’okujingirira obutambi obulaga nti yakwaata Adongo.

Bano bakwatiddwa nebagalirwa ku poliisi ya Jinja Rd oluvanyuma n’ebaletebwa ku poliisi y’e Kira gyebavudde nebatwalibwa mu kkooti e Kira omuamuzi Agelun n’abasomera emisango okuli Okujingirira ebiwandiiko bya lisiiti ebiraga nti basasula Arinitwe ssente z’obupangisa, omusango gw’okutambuza ebiwandiiko buno ebijingirire nga bino baali babisaako n’omukono gwa Arinitwe nga omusango ogw’okusatu gwakusalimbira mu kifo ekikyamu nga bino byonna byaliwo mu mwaka oguwedde mu mwezi gwa October nga emisango gyonna abavunaanwa bagyegaanyi.

Adongo yasoose kutegeeza mulanuzi nga bw’amanyi olulimi lumu Oluteso wabula webamutegezeza nti kabongereyo omusango okutuusa nga bafunye omuvunuzi nategeeza nga wamanyiimu oluganda n’oluzungu olutono wabula omulamuzi yabategezeza nga emisango gyebavunanibwa bwegyeyimirirwa nga basobola okufuna ababeyimirira abatabaddewo nga bano basabye omulamuzi kkooti ebayimbule kakalu kayo nga bakubeera baginvu gyeri wabula omulamuzi nabigaana nabasindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga 22/6/2026 .

Otayi ategezeza kkooti nga webalina abaana 4 abataliiko mwasirizi nga omukulu wa myaka 10,7,3 ne 1 nga e nnaku ebiri z’ebamaze ku poliisi babadde tebaliiko abalabirira wabula nga tekyabataasiza era omulamuzi n’alagira abasirikale ba kkooti okutwala abaana bano ku poliisi y’e Kira eri abatwala ensonga za baana bakumibwe eyo ye omuto agendde naye e Luzira .

Arinitwe ategezeza nga abantu bano webamumazeeko emirembe nga bamusaako egasangosango gatamanyiiko nekigendererwa eky’okumujamu ssente nga bano baze babikola ku bantu abenjawulo nga waliwo negwebasibisa e Nakawa nga bamupatiseeko agasango gegamu. 

Kigambibwa abasibe webatusiddwa ku kkooti waliwo abantu abaze ku piki piki n’abaana nebabasuulawo nebagenda nga abasirikale  bano babajeeko ensawo gyebabadde nayo eyasangiddwamu eddaagala ly’ekinansi nga tebategedde kigendererwa kya ddagala lino.

Arinitwe atangaaziza kubyaze ayitamu okuva 2025.

Arinitwe agamba abakwate bano bamumazeeko emirembe okuva webasalimibira ewuwe n’ekigendererwa ekyokumujamu ssente nga webakikola ku bantu abalala nga ensonga zino zatwalibwa mu ofiisi ya Lc eya Kireka D-Kiganda era ssentebe w’ekyalo Kibira Fred ensonga yazituulamu nezimulemerera kyokka bano

bamutwala ne ku poliisi y’e Kireka nebamugulako agasangosango agasoba mu 10 okuli n’okumuwayiriza okukwata Adongo, okumukuba wamu n’okutuusa obulabe ku mwana we wabula ono agamba abasirikale bamu ku poliisi y’e Kireka bakolagana n’abantu bano okumunyaga nga webanyaze abalala nga wasabye bekikwatako okumuyamba afune obwenkanya nga wano wasabidde omuduumizi wa UPDF General Muhoozi Kayinerugaba okuyingira munsonga eno kuba abasirikale abamu balabika bakolagana n’abakwate bano okumubba kyokka nga ne lisiiti zebagamba nti yazibakolera tezikwatagana newebagenda nebakebera kwezo abapangisaabe zebalina.

By Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment