24/6/2026
Bya Muwandiisi waffe.
NGA akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga kakamaliriza okufulumya e nnaku z’okulindderako obukulembeze bwa LC ku Monday nga 22/6/2026 wamu nebinaagoberebwa mu kulonda kuno okulibaawo nga 28/7/2026, abantu abenjawulo batandise dda okukola entekateeka ezinabatuusa kubuwanguzi nga n’abo abaliko emitima gyatandise dda okubakyekeera.

Mu Munisipaali y’e Kira tukutuute ku kyalo Kireka D ekimanyiddwa nga kiganda nga kino kisangibwa mu Division y’e Namugongo mu Munisipaali y’e Kira nga kikulemberwa muna NRM William Kibira abantu abawerako besowoddeyo dda okumusuuza entebe ya Lc1 nga mubesowoddeyo kwekuli Arinaitwe Denis (Zezimu) ng’agamba yasazeewo ajje nga talina kibiina kubanga ayagala agate banna Kiganda nga tasosodde mu bibiina by’abufuzi olwo abantu banyumirwe obuwerezaabwe nga ssentebe nga bamaze okumulonda.
Arinaitwe nga musuubuzi omututumufu mu Kiganda owa Kiganda gardens agamba emirimu yasazeewo ajiwumuze ejibadde jimutwalira obudde obuwera anti ng’asuula mu baalaye okulaba emirimu bwejitambula neyebaka emisana ng’agamba ebaala yajiwumuza kati ali makaage wasisinkanira abantu okulaba engeri y’okutuusa obuwereza ku bantu nga bwalinda ennaku zebabawadde okwendisizaako n’okunoonyezako akalulu bwezituuka olwo atandike okusagula obuwagizi obumutuusa ku buwanguzi.

Ono agamba atambulidde ku nsonga 10 kwagenda okwesigama okusobola okutuuka ku buwanguzi nga ensonga esooka:-
- Agamba mu Kiganda simusenze mutuuze omugundiivu ng’alinamu ebintu ebyenjawulo era alina kyakoledde ku nkulakulana y’e Kitundu kwosa abantu abawerako bawadde emirimu egyenjawulo.
- Musajja mufumbo alina amaka agenjawulo ekiraga obuvunanizibwa nga tekibeera kyabwenkanya okulonda ssentebe nga talina mukyala wankalakalira era omuntu ekikula ng’oyo tasobola kulembera bantu.
- Ekyalo kino kirina ebizibu ebiwerako omuli neby’ettaka kwebatudde, wabula nga ekyesanyu kyebalina pulezidenti Museveni yalibawa omwaka oguwedde ng’ayitira mu Ssaabaminisita Robina Nabanjja nga balinze byapa okukakasa obwananyini wabula ono agamba ebizibu byebayitamu naye byamukosezaamu nga yomu kubasinga okukosebwa poliisi bweyamenya amayumba g’abatuuze nga yafiirwa amayumba g’abapangisa agasoba mu 70 nga kino Kiraga nti singa akwasibwa entebe tasabola kulya mu kyalo lukwe.
- Agamba simugagga wabula alinawo kwatandikira ng’agamba taze mubukulembeze kunoonya ssente era mu kisanjakye agamba ebitundu 85 ku 100 byakuweebwa abantu kubwereere nga talaba nsonga emujisa ssente ku muntu akimye ebaluwa okwewola ssente, anoonya omulimu, agenda mu Kkooti nebirala ng’agamba ssente eziva mu 25% zimala okukolako emirimu gy’ekyalo.
- Agamba ye embwa ajiyita mbwa nga kibeera kizibu okudda ku ludda olukyaamu okulamula ensonga okunyigiriza omuntu ng’abasuubiza obwerufu mubuwereza.
6.Kiganda kyalo ekiriko abantu abamawanga agenjawulo wabula ye Munyankole wabula akolagana nabuli muntu w’okukitundu.
7.Ategezeza nti ebanga lyamaze ku kyalo kino erisoba myaka 20 kitegeeza ebizibu by’ekitundu abimanyi era neky’okubikolera akimanyi okusobola okutandikira awo ssentebe aliko wanabeera akomye.
8.Agamba ebanga lyamaze ku kyalo talina lutalo lwona na muntu nga kibeera kizibu omuntu okumuwa ensonga emumisa akalulu.
9.Kiganda kye kyalo ekisinga abantu abanji mu Kira abakunukiriza emitwalo 7 wabula agamba alina amaanyi n’obusobozi obubayitamu okubasaba obuwagizi.
- Agamba abawagizi kwatandikira abalinawo nga okwo kwananonyeza abalala ekiseera ky’okunoonya akalulu nga kituuse kubanga abantu yamala dda okubategeeza nga bwajja nga kiseera kyokka kyekibulako nga wano wasabidde banna Kiganda okumusaamu obwesigwa bamulondde ku kifo kya Lc nga 28 omwezi gw’omusanvu omwaka guno

