Ssenkulu w’ekitongole ki kcca hajjat Sharifah Buzeki alabudde abagufudde omugano okwesuulirayo ogw’anagamba mukweyonja n’ebakakana nga babeera mubifo ebikyaafu ebisobola n’okubalwaaza nga bwekiri ekyobulabe kubulamu . Ono asinzidde mukuyonja abatuuze okuyita mukawefube eyatandikibwa KCCA owa weyonje nga olwaleero KCCA esiibye mubitundu bye Kitebi, nyanama, Kabuusu ne parish ye Mutundwe mu division ye Lubaga

Mumbeera abantu bona abasaangiddwa nga webabeera newebakolera wakyaafu basabiddwa okusitukiramu beegate ku kcca mukweyonja ewatali kulemererwa
Wabula wano era waliwo n’oluguudo olumanyiddwa nga mackinoni road okusaangiddwa mumbeera embi etaganya yadde owa kagaali oba pikipiki okuyita okujjako owebigere era nga kizuulidwa nti okutuuka mumbeera eno kyava kumukoka, n’abantu abata kazambi, n’ekasasiro nebituuka okulukutiramu
Buzeki alabudde nti mukubakolera ekubo baakumenya abo abaliranye ekubo nga mukiseera kino baakutandika neemitendera ejisookerwaako mukulikola
Mungeri yemu alabudde bona abataagala kuyonja webabeera nti bagenda kugalibwa era naakakasa nti KCCA teteekeddwa kubayonjeza Waka waabwe nga wabula ekoma ku nguudo zokka.
Bbo abamu kubatuuze basiimye KCCA olwokubataasa embeera mwebabadde n’ebategeeza nti kati baakwongera okweyagalira mugwanga.


