Katikkiro wa Buganda akubirizza Bannabuddu okwettanira ebibiina

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza Bannabuddu okwettanira ebibiina by’obwegassi baganyulwe mu birungi enkumu ebibirimu omuli; okwanguyirwa mu kufuna ensimbi z’okwejjanjaba, okufuna ebisale by’essomero, okuba n’amaka amalungi, okukola emikwano n’ebirala.

Mu ngeri yeemu, abajjukizza enkulaakulana ezaava mu bibiina by’obwegassi ebyali mu Masaka nga bino byebyaviirako ekitundu ekyo okubaamu ebizimbe eby’omutindo, ennyumba ennungi, obuyivu mu maka agatali gamu n’okufunira abantu emirimu.


Wabula bano abakalaatidde okukulembeza obwerufu n’okwewala obulyake bwebaba baagala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. Bino abyogeredde mu nsisinkano ye n’ebibiina by’obwegassi ebyenjawulo ebikuŋŋanidde e Bukoto ku mbuga ye ggombolola Ssaabawaali Bukoto mu Buddu mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’atambuza mu Buganda.

Bya skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment