ABEEGWANYIZA OBWA SIPIIKA NEKY’OMUMYUKA BATEDEYO OKUSABA KWABWE

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

Banna kibiina ki NRM abeegwanyiza obwa Sipiika wa Parliament n’omumyuka enkoko bagikutte mumwa okugenda ku kitebbe ky’ekibiina kyabwe ku Kyadondo Road mu Kampala okussaamu okusaba kwabwe eri akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda.

Abadde omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa awaddeyo ebiwandiiko ebiraga nti agwanide okusigaza ekiffo kino ne mu Palamenti ey’ekkumi n’ebiri 

Empapula bazikwasizza ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina Dr. Tanga Odoi.

Jacob Oboth Oboth naye awaddeyo empapula ze eri akakiiko enkya ya leero. Kinajjukirwa nti Oboth Oboth yawandibwako eddusu ab’ekisinde kya PLU ekikulirwa Gen.Muhoozi Kainerugaba wabula bannakibiina abalala abeegwanyiza ekifo nabo baasabiddwa  okuteekamu okusaba ku bwa Sipiika n’ omumyuka  we. 

Mugeri yemu omubaka omukyala owa Disitulikiti y’Omoro, Catherine Lamwaka alonze foomu z’okulaga obwagazi ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, ng’alaga obumanyirivu bw’alina. 

Yagambye nti Palamenti ekola kinene mu kujjuliza kabineti naddala ng’eggwanga ligenda mu maaso n’okutuuka ku mbeera y’abafuna ssente eza wakati.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Terego, Rose Obiga  naye ataddemu okusaba yeesimbe ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti ey’e 12 adde mu kifo  kya Rt. Hon. Thomas Tayebwa. Ono  awerekeddeko Jacob Oboth Oboth  naye abadde yaakamala okuwaayo empapula ze. Wadde nga Gen. Muhoozi Kainerugaba eddusu yaliwanze ku  Tayebwa abadde mu kifo kino.

Susan Nakawuki Nsambu, omubaka Mawokota South, naye alaze obwagazi mu butongole ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika

Ate Mary Kamuli Kuteesa, omubaka wa Mwenge South, asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa sipiika wa Palamenti

N’omubaka Patrick Obura omubaka wa Oyam South asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti ne James Ruugi Kaberuka omubaka wa Kinkizi West mu Disitulikiti y’e Kanungu ng’ayagaala ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti saako Omubaka wa Palamenti ow’e Buyaga, Denis Namara asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa sipiika wa Palamenti

Mugeri yemu n’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Masindi Florence Asiimwe Akiiki asunsuddwa okuvuganya kubwa sipiika wa Palamenti

Ne Lydia Wanyoto, omubaka omukyala mu kibuga Mbale, asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa sipiika wa Palamenti

Jackson kafuuzi asusunddwa ku kifo ky’omumyuka wa sipiika wa Palamenti e

Minisita w’eggwanga ow’amayumba agenda okuva mu ntebe, Persis Namuganza asunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’omumyuka wa sipiika

Lt. Gen. Henry Tumukunde, omubaka wa Palamenti mu Munisipaali y’e Rukungiri asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Saako Edward Makmot Otto, omubaka wa Agago County asunsuddwa ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika wa Palamenti .

Dr Tanga Odoi ategeezezza nti babaka ba NRM CEC ku Ssande eno nga 24 May 2026 bagenda kusengejja okusaba n’okusemba abantu abaagala okwesimbawo ku bwa Sipiika bwa Palamenti NRM ku lunaku lwe lumu

bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment