Mathias Mpuuga agenze mu kkooti ya Ssemateeka okuwakanya okulonda kwa bonna okwa 2026

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

Mathias Mpuuga alaze nti ekibiina kye kyawaaba  mu kkooti ya Ssemateeka nga bawakanya okulonda kwa bonna okwa 2026

Ekibiina kyebyobufuzi ekya Democratic Front kitegeezezza nga bw’ekimaze edda okutwaala akakiiko ke byokulonda mu mbuga za mateeka kewozeko ku ngeri gy’ekategekamu akalulu akawedde akalimu ebirumira enfofolo, era nga bannauganda bangi n’okutuusa kakano bakyakewunya.

Akulira ekibiina ki DF Hon Mathias Mpuuga Nsanba asinzidde mu lukungana lwa banamawulire ku Kitebe kye kibiina kino e Lungujja mu Kampala, nategeeza nga ensonga zabwe bwezatuuse edda mu kooti eya ssemateeka era nga bagaala kooti ebeeko ensonga mwenda zeeba yekenenya era eragire ziterezebwe olwo banauganda abeenyigira mu kalulu ka 2026 nebatafuna bwenkanya balyoke babufune.

Ezimu ku nsonga bano zebasimbyeko essira kwekukangavula akakiiko ke eby’okulonda okulemererwa okuddamu   okusala ensalo ze bitundu ebikikirirwa mu lukiiko olukulu olwe ggwanga buli luvanyuma lwe myaka kumi, akakiiko okulemererwa okutanya ku nsonga zo buuma obwaletebwa okweyambisibwa mu kulonda kyoka n’ebutakola, amagye okukola effujjo mu kalulu ne birala ebyakeyolekeramu aba DF by’ebagamba nti byafuula akalulu Kano akebetege.

Owek.Mpuuga era agamba nti ne nkola eyokunonyesa  emikono abeera yesimbyewo okwetoloola eggwanga   ku kiffo kyo mukulembeze we ggwanga kyoka nga alina ekibiina kyebyobuzi kyakwatidde bbendera yetaaga okuterezebwamu, kuba omuntu oyo abeera yakakasibwa dda ekibiina ekiba kimutademu obwesigwa.

Ono era agenze mu maso navumirira ebikwekweto byo kwonona ebintu bya bantu abakolera ku nguudo mu kawefube wo kussa mu nkola eteeka erirambika ebyobusubuzi.

Owek. Mpuuga agamba nti gavumenti yandisose okutekeratekera abantu webakolera awalungi so si kwonona bintu byabwe mwebajja Sente ezibabezawo.

Mungeri yemu agenze mu maaso natanya ne kuteeka eribbobya bannauganda omutwe eryobwetengetereze.

Nategeeza nti teririba kigendererwa kuyamba Uganda, wabula lyakugasa muntu sekinomu na kibiina kya NRM.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment