Bannauganda bonna nadala bannakampala bakubirizidwa okukwatira awamu mukulwanyisa empewo embi eyegirisiza mu bwengula, nga eno yabula ddala eri obulamu bwo muntu.

Empewo embi eno ereteebwa ebikaka ebiva mu bidduka ebikozesa Amafuta, Ebikaka ebiva mu makolero, omuka oguva mu kufumbisa Enku na manda, Abafuweeta segereti, Enfufu Eva ku nguudo ze Ttaka ne biringa.

Hajjati Sharifah Buzeki
Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku kibuga ki Kampala Capital City Authority Hajjat Sharifah Buzeki asinzidde mu ku City hall mu Kampala, musomo ogwetabidwamu ebitongole eby’enjawulo mw’ebakubaganyiriza ebirowoozo butya bwebayinza okulwanyisa ekizibu kye empewo embi mubwengula, nategeeza nti mu Kampala ebyuuma ebipima empewo mu Kitongole ki NEMA biraga nti tenaba kuba mbi nyo, naye ate ku mutendera gwe ensi yonna Uganda eggwanga liyina omulimu munene ogwokumalawo ekizibu kino.

Mungeri yemu Hajjat Buzeki ategeezezza nga ekitongole Kya KCCA bwebabakanye ne ddimo okulaba nga balwanyisa ekizibu kino era nga ebimu kubyebakoze okukakanya empewo embi kwekuteeka abantu mu bintundu ebyenjawulo mu Kampala saako ebitongole by’obwanakyewa okusomesa abantu butya bwebayinza okukendeza empewo embi.

Agamba nti balina entekateka ezokuleeta zi Bbaasi ezikozesa amasanyalaze era na kubiriza na bannakampala ebiseera ebimu okutambuzako ku Bigere kiyambeko ku kukendeza ku muka omubi oguva mu motooka ne pikipiki

Bya Mugula Dan


