OBULWADDE BWA LUKUSENSE LWEYONGEDDE MUBAANA MU Disitulikiti EZENJAWULO.

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

BIRANGIRIDWA MINSTRY YE BYOBULAMU MUGWANGA.Bya Mugula Dann

Minisitule y’Ebyobulamu erabudde ku ndwande y’olukusense olubalusewo muggwanga  mu baana abato mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga, era n’esaba bannayuganda okwongera okwekuuma n’okwetaba mu nkola z’okugema. Bino abyogeredde mu lukug’aana lwa bannamawulire ku makya ga leero olubadde ku ssengejero ly’ebyamawulire mu ggwanga 

Ng’ayogera eri bannamawulire ku makya ga leero, kamisona omukulu ow’Ebyobulamu mu Minisitule  Dokita Charles Olaro, ategeezezza nti wadde nga gavumenti etaddewo enkola ez’okulwanyisa obulwadde buno, waliwo obwetaavu bw’abantu okwekebeza n’okugema abaana mu budde. Ono asinzidde ku nsonga y’okuba nti olukusense bulwadde  busigala bwa maanyi nnyo naye nga busobola okuziyizibwa singa abantu bagoberera obukodyo obuteereddwawo Minisitule.

Ono era ayogedde, nategeza nti Uganda eri mukatyabaga k’obulwadde buno obweyongedde enyo esangi zino era ono anyonyodde mubulambulukufu obulwadde bw’obulukusense  kyeki.

Ono alaze ebyo ebiraga nti omwana alina obulwadde bwa mizoozi omuli omusujja, amaaso amamyufu, ekifuba, ssenyiga, okuyiwa olutiko 

Ono agamba nnewankubadde nga obulwadde bw’olukusense buno bweyongedde naye  gavumenti ekoze kyona ekisoboka okulaba nga esenvula ebitundu 90 ku buli 100 okulaba nga balwanyisa obulwadde bw’olukusense okuva mu 20216 n’okutuusa kati nga bwanyonyola 

Ono agamba balina eddagala mu malwaliro gaabwe erigema obulwadde buno era ng’omwana alina okufuna ddozi ebiri ezigema obulwadde buno nga esooka erina okufunibwa nga omwana wa myezi 9 ate ey’okubiri emuweebwa nga wa myezi 18. Naye ono alaze okwenyamira kwalina kubanga abaana abasinga tebafuna doozi yakubiri 

Ono agamba ebitundu 25 ku buli 100 be baana abato abali wansi w’emyaka etaano abalina obulwadde buno obwa mizoozi nga bwanyonyola 

Ono agamba nti disitulikiti 16 zezaalopebwa okuba nti no zagibwamu ekirwadde kino okuli karamoja, lango, bujiri, lira nendala okuva mu mwezi gwa July paka kati 

Ono agamba nti abazadde bangi awamu nabalabirira abaana tebamanyi nti ddoozi ey’okubiri gyeri era eweebwa omwana nga wa myezi 18

Agamba nti mu baana abasimatuka obulwadde buno, basigala nebirwadde ebyobulabe mubulamu bwabwe ate ekintu eky’obulabe eri abaana 

Ono agamba walina okubeerawo ebikolebwa okulaba nga eddwadde eno enkendera era ono nategeeza nga gavumenti wegenda okutamdika kapeyini ez’okulwanyisa obulwadde buno mu mwezi gwa October okuva nga 1 paka nga 5 October 2026 era nga bakutamdikira kubaana abali wakati wemyezi 9 paka myezi 59 

Ono era anyonyodde egimu ku migaso eginaava mu kapeyini zino era nakunga abazadde baabana, abakulembeze, banaddiini, abakulembeze b’enono nebitongole ebyobwanakyewa okutwala omwaganya okulaba nga bongera okulabula abantu ku kirwadde kino 

Ono agamba nti buli mwana ali wakati w’emyaka 5 asobola okugemebwa era nagamba nti abazadde balina omulimu ogw’amanyi okulaba nga baatwala abaana baabwe okubagema obulwadde buno era ono akunze bannayuganda okujumbira kapeyini awamu n’enteekateeka za gavumenti.

Share This Article
Leave a Comment