Balinze kiwedde n’ebalyoka bavaayo okugabana-Mao

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Ssenkaggale wa Democratic Party, Norbert Mao akolokose abavuddeyo okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa Palamenti oluvannyuma lw’ebyatuuse ku Anita Among abadde mu kifo kino era nga abadde ayagala kukyeddiza. 

Mao agamba bano balinze kiwedde nebalyoka bavaayo okugabana era abagerageranyizza ku nsega ezirinda okulya empologoma kyeyizze nti kubanga yavaayo nawakanya abanyunyuuta eggwanga nga bbo basirisire kyokka nebavaayo ku ssawa envannyuma. 

Mu ngeri y’emu, ono ategeezezza nti akyali mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa Palamenti era asuubira buwanguzi bwokka. 

Norbertmao agamba nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu mu kulonda Sipiika omutuufu ku Palamenti ey’ekkumi n’ebiri, ng’agamba nti obukulembeze bulina okulung’amibwa ebigendererwa ebitegeerekeka obulungi n’ebintu by’eggwanga.

Mao agamba akyali mu lwokaano lwa Sipiika wadde nga waliwo amawulire agalaga nti NRM ewagira Oboth

PULEZIDENTI w’ekibiina kya DP awakanyizza ebyogerwa nti okuvuganya kubwa Sipiika kwamaze dda okugonjoolwa aba NRM.

 

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment