Sipiika omuggya Jacob Oboth-Oboth yeeyamye okukulembera palamenti etaliimu nguzi, n’asuubiza obwerufu n’obuvunaanyizibwa obusingawo mu Lukiiko.

Oboth-Oboth agamba nti palamenti egenda kusigala nga nzigule eri emikutu gy’amawulire okwekenneenya, n’agamba nti abakulembeze abatalina kye bakweka balina okwaniriza okulondoola kw’abantu.
“Bw’oba tolina ky’okweka, emikutu gy’amawulire ge maaso n’amatu g’abantu,” bwe yagambye.
Yagasseeko nti palamenti tesobola bulungi kuvunaana bitongole bya gavumenti birala ku nsimbi za gavumenti okuggyako ng’obuvunaanyizibwa butandikidde mu kitongole kyennyini.

Oboth-Oboth okwogera bino bijjidde wakati mu kweraliikirira kw’abantu okweyongera olw’obuli bw’enguzi, ensaasaanya esukkiridde n’obuvunaanyizibwa mu palamenti oluvannyuma lw’okusika omuguwa okwazingizza obukulembeze bwa palamenti obw’ekkumi n’ekimu obwa Annet Anita Among
Bya skynewsug.com


