Entaana y’omuyimbi, Paul Kafeero esimiddwa enkya ya leero nebafuna ekitundu ku bisigalira bye nga kino kya kukozesebwa okukebera endagabutonde okusala eggoye ku baana ba Kafeero n’abatali. Bino bikakasiddwa minisita Balaam Barugahara okuyita ku mikutu gye emigattabantu.

Balaam ategeezezza nti enteekateeka eno yakukwatibva n’obukugu ng’ekulembeddwamu akulira ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku kwekebejja ebisigalira by’abafu, Dr. Moses Byaruhanga


