Hajjati Buzeki Sharifah n’omumyuka we, Benon Kigenyi bakedde kukyalo Kasanvu Zooni e Makindye mu kampeyini ya Weyonje, kyoka kibawedeko webasaze nga abatuuze abatalina kaabuyonjo nga obubi babuyiwa mu myala.
13/6/2026

Akulira KCCA hajjat Sharifah Buzeki wakati, n’omumyuka we Benon Kigenyi kudyo kukono ye Ssentebe wa LC1 Kasanvu zooni mu kifaananyi
Mukulambula ekyalo Kasanvu hajjati Buzeki akubirizza abatuuze okukuuma obuyonjo mu maka gabwe baleme kulinda KCCA nabo benyigiremu.
Hajjati Buzeki agambye nti balina okulaba nga basitula omutindo gw’ekibuga n’ebitundu bino bye tuwangaaliramu nga tutuukira ddala ku mutindo gwennyini ogusaanira ekibuga ekikulu ekya Uganda nga emu ku kampeyini gye tulina mu kcca.

Buzeki agambye nti ekitongole ki KCCA kigenda kuzimba toyi z’olukale ku kyalo Kasanvu Zooni okutaasa abatuuze endwadde eziva mubuligo.
Ate Dr Sarah zalwango bakulembeddwamu enteekateeka ya weyonje akubirizza abatuuze be Kasanvu zooni buli omu, buli dduka okubeera n’kifo we bakunganyiza kasasiro wamu n’okugondera amateeka agalungamya Kampala okuba omuyonjo.
Ono avumiridde ebikolwa by’okusuulasuula kasasiro n’atuuka ne mu myala egitamuza amazzi ky’agambye nti kye kivirako amataba mu Kampala ensangizino.

Dr. Sarah Zalwango nga alambula webafumbira emmere mukifaananyi mu kyalo Kasanvu Zooni
“Temumansamansa kasasiro, temusuula kasasiro mu myala n’amakubo g’emuyitamu, ffaayo okulaba nga olina akaveera ku muzigo gwo k’oteekamu ebisaaniko ate era ogondere amateeka kubanga kino kibuga Dr Sarah bwagambye.
Dr.Saraha ategeezezza nti ssi buli muntu nti akola nga bwayagala tulina okubeera abateeketeeke nga tweteeseteese bulungi naddala ku nsonga z’obuyonjo n’obulamu bwaffe.

Omumyuka wa KCCA Benon Kigenyi nabakozi ba KCCA nga bayonja Ekyalo Kasanvu
Abatuuze ku kyalo Kasanvu Zooni bona nga June bakulembeddwamu ssentebe wa LC1 wabwe Byibesho Richard balopendde Hajjat Sharifah Buzeki nti ekya Kasanvu zooni tekirina kaabuyonjo yonna yalukaale nga abatuuze obubi babuyiwa mu Myala ekigenda okuvako endwadde.

Dr Sarah Zalwango, Ssentebe wa LC1 Kasanvu Zooni, Hajjat Sharifah Buzeki n’omumyuka we
Gyebuvuddeko KCCA baggyawo ekifo ekisuulibwamu kasasiro mu ngeri emenya amateeka ku kyalo Kasanvu Zooni ekyali kimaze emyaka egisukka mu etaano
Ab’obuyinza mu wiiki eweedde bategezezza nti ekifo kino mu bitundu by’e Makindye Kasanvu zooni ekimaze emyaka egisoba mu 5 nga kifuuse kya bulabe eri abatuuze.
Bya Mugula Dan

