Ebya Kananura eyakwatira NRM bendera mu Kira bibi.

muguladan2024@gmail.com
4 Min Read

16/6/2026

NGA okuwuliriza emisango ejivunaanibwa abaloopebwa mu kalulu akaakagwa ak’ababaka ba palamenti, mu munisipaali y’e Kira eyavuganya ku kaadi ya NRM Daniel Kananura ali mu katu oluvanyuma lw’okuloopa omusango gw’eby’okulonda kyokka oluvanyuma nebimukyuukira nga eyaloopa naye aloopeddwa. nga kigambibwa byeyaloopa teyabimanya era tebyaali mateeka nga bano baagala weguba gumusinze abaliyirire olw’okubonoonera obudde.

Mukalulu kano mwalimu abantu 9 okuli George Musisi owa NUP, Ibrahim Ssemujju Nganda PFF Omubaka eyaliyo, Daniel Kanura NRM, Mark Tulyazalwa INDP, Moses Katunda INDP, Arthur Bright Niwagaba INDP, Patrick Katuramu INDP, Andrew Eiru  Epedu FDC ne Katabarwa Frank INDP

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akakiiko kebyokulonda nga 29/5/2026 akakiiko k’eby’okulonda aka Electoral Commission bawawaabira Daniel Kananura omusango oguli ku fayiro nnamba 069/2026 nga basinziira ku musango gweyaloopa nnamba 0003/2026 nga bagamba omusango gweyaloopa tegwalina bukakafu kweyisgama kwosa okuguloopa nga obudde obuli mateeka buyiseeko oluvanyuma lw’okufuluma kwa manya g’abesimbawo okufulumizibwa mu kyaapa kya gavumenti nga basaba omusango gugobwe n’omuwaabi asasule obudde bwayononedde beyaloopa.

Kananura yafuna obululu 7,799 ye Mussisi nafuna obululu 24,848 okusinziira ku Uganda Gazette nga ye Ssemujju yafuna obululu 16,654 nga Kananura ow’okusata yadukira mu kkooti naloopa Musisi n’akakiiko k’eby’okulonda ng’agamba simumativu nebyo ebyaava mu kulonda kyokka oluvanyuma banamateeka ba Kananura aba  Yovino Okwir & Co Advocates webabasavinga ekiwandiiko kya kkooti baddamu nga 7/5/2026 nga  balaga omusango baguvaamu era webabeera baagala okubaako ekiwandiiko kya kkooti kyonna kyebaagala okubawa banoonye Kananura yenyini bakimweweere. 

Musisi agamba ono okuloopa omusango guno kirabika yali mungeri ya zaala ng’alina byayagala okuyisaawo kubanga talina nsonga yonna gyagamba nti Musiis yajikola oba ba Agenti be  kweyasinzirira okuloopa nga misango gy’eby’okulonda mateeka olina okusaamu ensonga lwaki oloopa nga eky’okubiri mateeka olina okuloopa nga ennaku 30 tezinayitako nga gazette emaze okufuluma kyeyakola nga ekiseera kino kiyiseeko .

Ono agamba basaayo okusaba kwabwe mu kkooti nga baagala omusango guno gugobwe olwensonga gwatekebwaayo wabweeru w’obudde nga okusaba kuno kwawebwaako ba namateekabe naye tekwanukulwanga nga yategeddeko nga akakiiko k’eby’okulonda wekaloopa nga kasaba omusango gugobwe kunsonga zezimu era emisango jino gyona jirinze kuwulirizibwa.

Yagaseeko nti olw’okuba omwami ono abamalira budde nga webasuubira kubanga tewali musango gwa simba  gweyaloopa basaba kkooti asooke ateekeyo ensimbi ezesalira singa babeera bawangudde omusango kwebatandikira nga mateeka bakiyita ”Security For Cost” nga kino bakikola olwensonga eyaloopa tebamanyi makaage matuufu gyebayinza okumusanga kwosa okumanya omulimu omutuufu Kananura gw’akola okumanyikiddwa era ogwo gwemusango ogugenda okusooka okuwulirwa nga tebanagenda musango omukulu asooke aseeyo ssente ezesalira kkooti zenaaba esaze nga singa gubeera gumusinze batandikira ku ssente ezo okukwaata  kubanga abamu baleeta emisango nga jino nga bali mungeri yakuzaanya zaala okulaba kiki ekivaayo ate nga babeera bamaze obudde bw’abantu.

Banna Mateeka ba Musisi bakulemberwaamu Julius Galisonga  n’omubaka wa Kawempe North Erias Nalukoola bagamba betegefu okuwoza omusango guno e ssaawa yonna kkooti gyenabeera etegese balage ensi nti obuwanguzi bwaabwe bwaali bwa mazima kubanga obululu ow’okubiri n’owkusatu bwebaafuna newobugata basigala bawangula n’obululu obusoba mu 600. Kyokka okuva abaali banna mateeka ba Kananura okubategeeza nti tebakyaali banna mateekabe era tebafunanga balala  babawandiikira kubategeeza nti bebaze musango ogwo.

Wabula kawefube waffe okwogerako ne Kananura okutangaaza kunsonga zino agudde butaka oluvanyuma lwa nnamba ye ey’essimu emanyiddwa okubanga teliiko.

Bya Skynewsug.com

Share This Article
Leave a Comment