Ow’obutangaavu alaze obulabe bw’okutwalira amateeka mu ngalo.
15/6/2026
MUBIRU Nsubuga Kafumbirwango Ssabatangavu omukulembeze wenzikiriza y’obuwangwa nenoono ey’obutangavu (Transparencianity Faith Ministries) Ebuna ensi yonna alabudde abantu ku kabaate akali mu kutwalira amateeka mungalo nategeeza nga abantu bangi batiddwa mu kutwalira amateeka mungalo kyokka oluvanyuma n’ekizuulwa nti tebabadde na musango kyokka nga omuntu nebwaaba n’omusango eteeka ligamba mukwata navunanibwa wabula sikutibwa.

Mubiru okwogera bino kivudde ku alipoota ya poliisi eyafumye nga eraga abantu abasoba mu 500 webafiirwa obulamu olw’okutwalira amateeka mungalo nga n’omu kubakyasembyeyo ye muzannyi wa Rugby Ogongodyo Sydney eyatibwa ekibinja ky’abantu omwali n’abavuzi ba Boda Boda nga wetwogerera 10 bamaze dda okukwatibwa babitebye nga wano Ssabatangavu waviriddeyo nasaba abantu okukomya omuze ogwo kubanga ebikolwa nga ebyo webibaawo banji bakwatibwa omuli neba salumanya kyokka nebatibwa nebaleka abantu baabwe nga balaajana.
Ono ategezeza abamu nga webakozesa omukisa guno okuyisaawo ebyaabwe okugeza oyinza okuba nga oliko omuntu gw’obanja ensimbi eziwera olw’okuba tayagala kusasula nakuyita awantu akusasule olutuukawo ng’akukubira enduulu nti omubbi wuuno abantu nga bakukakanako nga bakuta kubanga bo tebamala kubuuza kumanya kituufu nga offa nga oli ebanja aliwona!.
Agamba ekigambo “Mob Justice” kyenyini abakitaputa mu Luganda bakitabuta bubi kubanga “Mob” kitegeeza ekibinja ekyegaze okukola ekikolobero kyokka “Justice ” nekitegeeza obwenkanya nga kibeera nga ekitegeeza nti omuntu gwebabeera base babeera bamutidde mu bwenkanya ekitegeeza ebigambo ebibiri tebyalina kugatibwa wamu era singa omwana akivunula nga bwekirina okuba akiraba nga ekirungi ng’agamba ebigambo nga bino binji byajja mu ggwanga naye nga wobivunula amakulu gaabyo malala era navumirira ebikolwa eby’okutwalira amateeka mungalo kubanga binji ebitategerekeka nga omuntu atiddwa kabeere mubbi ate nga singa akwatibwa amawulire mangi agasobola okumujibwaamu nga n’olumu bane babeera nabo mize benyigira mu butemu buno akwatiddwa aleme kubawaayo singa atuuka ku poliisi nga mulamu.
Ayongerako nti okuva edda mu buwangwa nga ebitongole ebikwasisa amateeka bikwata abantu abaziza emisango nebatwalibwa mu mbuga nebawozesebwa n’okuvunanibwa singa gubakka mu vi nebaweebwa ebibonerezo era kyakumanganyo obutebenkevu bwensi nga n’amaka agavuddemu omuntu aziza omusango nga gamanyibwa nga n’amanya agamu ag’abantu abakolanga ebikolobero nga gasuulibwa negatadamu kutumibwa mu bika naye kyanaku okuba ng’abavubuka batuuka n’okwetuuma amanya agatasaana oli neyeyita nti “Mutuju”, “Killer ” namalala nga byonna biva kunsi kugwamu nsa kyokka abantu nebatafaayo nga bo nga ab’obutangavu kwekuvaayo okutambuza amawulire ag’ekitangaala abantu basobole okutambulira mu kumanya nga balimu ensa.
Bya Skynewsug.com

