3/7/2026
Poliisi mu kibuga Lira ekutte abantu bana oluvannyuma lw’okuzuula ekyuma ekigambibwa nti kyakozesebwa okukola doola za Amerika ez’ebicupuli.

Omwogezi wa Poliisi mu North Kyoga Jimmy Patrick Okema agamba nti ekyuma kino kyazuuliddwa mu kisenge ky’omukazi ategerekese nga Sandra mwannyina wa Nighty Wengo mu Ireda Shamda Cell, Lira City East Division.
Poliisi era yazudde ebitabo by’emmotoka ne ddoola za Amerika ez’ebicupuli ezigambibwa nti ziwera obukadde bwa doola mwenda, nga zenkanankana n’obuwumbi nga 33 n’obukadde 700.
Okema agamba nti omu ku bateeberezebwa okuba Tonny Siwa yeewozezzaako nti ekyuma yakitwala mu maka ga Wengo kubanga babadde bakolera wamu bizinensi. Abakwate bakuumirwa ku Poliisi y’e Lira City Central ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Bya Mugula Dan

