16 /9/2026
BYA MUSASI WAFFE.
Sabaminisita Robbinah Nabbanja aagambye nti gavumenti egenda kusasula abasuubuzi abaakosebwa amataba mu wiiki biri .

Nabbanja asinzidde mu lukiiko lweyayise ku ofiisi ye mu Kampala okutegeeza abasuubuzi abakosebwa amataba okubalaga gavumenti wetuuse mu ntekateeka y’okubayilira ensimbi obuwumbi 20 pulezindenti Museveni zeyabasubiza omwaka oguwedde. olukikko lwetabiddwamu abakulembeze ba babasuubuzi nga bakulembeddwa ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya FUTA , minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda,abakungu okuva kitongole ky’e by’ensimbi nabalala.
Nabbanja yasinzidde mu lukiiko nategeeza abasuubuzi abakosebwa amataba nti wabaddewo obuzibu mu nkalala satu ezakozesebwa okuwandiisa abasuubuzi abakosebwa naye ekyo bakigonjodde kubanga enkalala ezo zaabaddeko abasuubuzi 2005 ,kyokka baziterezezza nebafuna omuwendo gw’abasuubuzi 1149 bebagenda okusooka okusasula era mu wiiki bbiri ssente zijakuba zituuse ku akawunti z’abasuubuzi
Yategezezza nti ssente era bakoze enongosereza munsasula nga tewali musuubuzi agenda kusussa bukadde 30,000,000 nga zonna ssente zakusasulwa nga ziyita ku akawunti sosi mungalo .
Etekateeka y’okusasula yasanyudde abakulembeze ba basuubuzi okuli John Kabanda neyebazaa pulezidenti Museveni olw’okubajjukira,asbaye abasuubuzi okubeera abakakamu okutuusa nga basasuddwa kubanga ekiseera kibadde kinnene nga balindirira okubasasula.
Ate omwogezi wa FUTA Moses Lwegaba ategezezza nti abasuubuzi abalekeddwa ebbali abakyalindiko abatagenda kusasulwa mu kibinja ekisooka bakolera ku bizimbe okuli Ziba plaza,Farmers Arcade, Gagawala Shauriyako, Original Shauriyako.
Lwegaba asabye gavumenti kuluno etuukirize kubanga abasuubuzi abaakosebwa bali mu mbeera mbi bagala kuddabulula bizinensi zabwe wakati nga betegekera okutuuka mu nnanku enkulu kubanga emaali eyanoneka bagigula mu ssente za looni.
Amataba agakuba emaali y’abasuubuzi gaaliwo nga 31 October omwaka oguwedde nga kigambibwa nti gaava mu kuzimba omwala gw’e Nakivibo omugagga Hamis Kigundu gwezimbako ekizimbe.

