Wakati mu kulindirira sente z’akameeza abakyala mukole nnyo-omubaka Amelia

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Abakyala bonna mu ggwanga bakubirizidwa okutunulira ebyo ebiyinza okuvirako business zabwe okufa babyewale basobole okusingala nga bakola olwo ggwanga liryoke lyongere okubenyumirizamu.

Omubaka  omulonde owa Mawokota eya mambuka Ameria Kyambadde bino abyogeredde mu lukungana lwa bakyaala olwategekeddwa ekibiina ekigata abasuubuzi mu Kampala,ekya Kampala Capital City Traders Association,( KACITA), nga luno luyindidde ku hotel Africana mu Kampala.

Era nga luno lutumidwa “Women in the business 2026” nga abakyala muno basomesedwa ebintu bingi ebibawa amanyi okusigala mu business.

Omubaka omulonde Ameria Kyambadde yebazizza nyo ekibiina ki KACIT nakubiriza

 abakyala okumanya entambula ya business ate era n’okwewala okudibuuda Sente mu bintu ebyokwejalabya.

Wano era ne Ssentebe wa KACITA,Isa Ssekito ategezeza nti abakyaala bamanyi nyo mu nsi eno nga n’olwekyo basalawo nga bo abasuubuzi okubateeka ku mwanjo bayambeko mukusitula ebyenfuna bye ggwanga.

Mungeri yemu ne Hajjat Baker Ssekalo Akulira Speed Plus Cargo nga bano basabaza byamaguzi Okuva emitala wamayanja asinzidde wano nategeeza nga bwebasobodde okuyambako abakyala nga babasubulira ebyamaguzi Okuva ebweru we ggwanga ku mbeeyi ensamusamu ekintu ekiyambidde ddala abakyala okukulakula mu business.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment