Kyadaaki abasuubuzi abakakalabiza mukizimbe ki Ovino Shopping mall balonze olukiiko olugenda okudukanya ekizimbe kinno oluvanyuma aba Trippati company okulemererwa okukidukanya mubulungi.

Okulonda kunno kukoledwa olwo’bukyafu obuyitiridde mukizimbe kinno omuli okwonona mubuveera nebayisa mudinisa, okufuka mubukyupa ,obutafa kukizimbe kukidabiriza nebirara.
Ebifo ebirondedwa bisuka mubitaano nga abalondedwa kuliko chairman w’ekizimbe kinno Francis kawoya nga yagenda era okulemberamu entekateka y’okutereza ekifo kinno.nga wakuyambibwako omumyukawe mwesiga Patrice

Mukwogera kwe asimye abayinako emigabo kukizimbe kinno okwetaba mulukiiko era nategeeza abalondedwa okumanya nti omulimo gw’ebatandise sigwamuzanyo wabula nga bayina kwatira wamu okutusa nga baweredwa obwananyini kw’ekyo kyebasasula.
Agaba moses nga yalondedwa kukyobwogezi bwekizimbe kinno yebaziza ssentebe wekizimbe kinno Francis kawoya eyasoka okuvayo nabalaga obwananyini kukizimbe kinno nga kati agamba bakutereza ekizimbe kinno kubanga ebanga deene nga tekifibwako.

John kabanda ssentebe W’abasuubuzi abegatira mu federation of Uganda traders association FUTA era nga yakulembedemu okubiriza okulonda kuno,asimye balandi lord okusa ekimu okulaba nga batwala ekifo mumaaso okukitereza nabakubiriza okuwere za oburungi era nabategezza nti ye nga omukulembezze baliwo kulaba abasuubuzi nga bafuna emirembe.
Bya Mugula Dan


