Ssenkulu wa KCCA hajjati Sharifah Buzeki alabudde abasuubuzi abaafuumuulwa ku nguudo n’embalaza z’ebizimbe mu kibuga obutetantala n’omulundi n’ogumu okudda kubanga anaakwatibwako kaakumujjuutuka.

Buzeki agambye nti okuva enteekateeka ya Trade Order lweyatandika mu Kampala wabaddewo okweyongera mu basuubuzi abewandiisa okufuna license bakolele mu mateeka nga wetwogerera bawandiisizza abasuubuzi abaggya 22,000.
Mu ngeri yeemu ayanjudde n’enteekateeka y’okutereeza eby’entambula ey’olukale n’ategeeza nti Bus zebaayanjudde zakubayamba nnyo mu kukendeeza akalippagano mu kibuga n’okwanguyiza ku bannakibuga mu by’entambula nti era sibaakudda mabega.
Alabudde ne bannannyini bifo ebisanyukirwamu abaleekaanya amaloboozi n’abawa ekigero kyago kyebatasaanye kusussa, n’asaba ne bannannyini bizimbe okubikuuma nga birabika bulungi n’obuyonjo bwabyo babufeeko kubanga nakyo kiri mu mateeka.


