Ronald Balimwezo Nsubuga alayiziddwa nga Loodi meeya wa Kampala ku City Hall. Ekirayiro kino kyakoleddwa omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa, akulira kkooti ya Buganda Road.
Omulabirizi Michael Kyazze, asoose kusabira ntebe y’obwa Loodimmeeya nga Eng. Balimwezo tanagituulamu

Omukolo gw’okulayiza Loodi Mmeeya w’ekibuga Kampala omuggya, Eng. RonaldBalimwezo ne Bakansala baagenda okuweereza nabo mu kisanja kino gubadde ku City Hall mu Kampala

Loodi mmeeya wa Kampala, Ronald Balimwezo olukubye ebirayiro n’ategeeza nti azze kuweereza Bannakampala era nti tagenda kubeeganya.

Okukkaatiriza ensonga eno, Balimwezo ategeezezza nti Palamenti gy’abadde kifo kisava nnyo nti naye yeefiirizza byonna n’akkirira wansi olw’obuweereza bw’ayagala okutuusa eri bannakampala era n’akakasa nti kino agenda kukikola.

Loodi mmeeya omuggya owa Kampala, Eng Ronald Ronald Balimwezo asekeredde abo nti Loodimmeeya wa Kampala talina mulimu gwakola era nti aliwo nga kifaananyi.

Balimwezo agamba singa ekyo kituufu, abantu bandibadde tebayayaanira kifo ekyo.
Wano wasinzidde nategeeza nti ekifo ekyo kya nkizo nnyo kubanga kyekyetoolerwako obuweereza mu kibuga era nasuubiza nti wanaamalirako ekisanja ng’omulimu gwa Loodimmeya buli muntu agulaba.

Balimwezo gambye nti abantu abasinga baali tebakkiriza nti nsobola okusiguukulula EriasLukwago_ olw’amaanyi geyalina n’obumanyirivu obw’emyaka emingi naye kino kyasoboka olw’amaanyi ga Katonda

Ate kansala Nanfuka Kibirige, akubye ebirayiro okukiikira abantu be Nakawa East mu lukiiko lwa KCCA ,olumaze okulayira olwaleero okutandika okuweereza eggwanga ,nawera okulwanyisa ekizibu ky’enguzi mu KCCA .

Mugeri yemu ne ShamimNambassa amaze okukuba ebirayiro okukiikira abantu be Kawempe South nga Kkansala omukyala mu lukiiko lwa KCCA.
Bya Mugula Dan


