Ababaka ba Palamenti ab’ekibiina ki @NUP_Ug bategeezezza nga bwebazize olutuula lwa Palamenti olwaleero Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mwagenda okwogererako eri eggwanga mu butongole.

Ayogerera oludda oluvuganya gavumenti era omubaka omukyala ow’e Mukono, @SheilahAmaniyo ategeezezza nti bakkaanyizza obuteetaba mu lutuula lwaleero nga bagamba nti gavumenti erina bingi byetannaba kutuukiriza omuli n’okugaana okuyimbula abasibe b’ebyobufuzi abavundira mu makomera.
Bya Mugula Dan

