Ssentebe wa Namugongo division alaze byatandikirako mu nnaku 100
11/6/2026
Ssentebe wa division y’e Namugongo omupya, Moses Aumba alaze ebintu 2 byatandikirako okukola mu nnaku kikumi ezisooka mu ofiisi.

Moses Aumba
Bino Aumba abyogeredde mu lukungaana lwa banna mawulire ku ofiisi za division eyo e Namugongo, nategeeza nti kati ateredde bulungi mu ntebbe era essira alitadde ku bintu bibiri byagenda okusooka okukola omuli okukendeeza ku kizibu kya kasasiro ekitadde abatuuze ku byalo ebikola Namugongo ku bunkenke olw’okubulwa ggebamutwala ekiyinza okubaviirako okulwala endwadde ezekuusa ku bucaafu.
Aumba agambye nti amalirizza okwatagana n’abakulira olukikko lw’ekikugu ku Namugongo division bagenda kutekawo sssente ezinabasozesa okugula ebimmotoka bya kasasiro bibiri ebigenda okusomba kasasiro okukugya mu bantu .

Ayongeddeko nti ekizibu kya kasasiro wekinaggwa agenda ku kwata ku bya bulamu omuli okuggula emmotoka bbiri eza ambyulensi ezinaayamba okutambaza abalwadde abali mu mbeera embi okubatuusa mu malwaliro kikendeze ku balwadde abafiira ku nguudo olw’obutaba na ntambula ya mangu ebatuusa mu malwaliro
Eyo gyanava okukwata ku buzibu ebirala omuli okuddabirizza enguudo, okuzimba obutale nebirala.
Asabye abatuuze b’e Namugongo okubeera abaguminkirizza ku buli nsonga kubanga ebizibu byonna ebibaluma abitegeera ng’ali wamu ne kanso ye bagenda kubikolako kubanga bali sitooka mpya.
Bya Mugula Dan

