Minisitule y’abakozi ba gavumenti eyanirizza mu butongole Gen. Katumba Wamala

nga Minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti ne Lydia Wanyoto Mutende LydiaWanyoto nga Minisita w’Eggwanga avunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti oluvannyuma lw’okulayira n’okuyingira ofiisi.

Gen Katumba agamba nti okulondebwa kwabwe kulaga essuula empya eri minisitule eno nga batwala obuvunaanyizibwa bw’okunyweza enkola y’emirimu gya gavumenti, okutumbula emirimu, n’okutumbula embeera y’abakozi ba gavumenti mu Uganda yonna.

Ate Lydia Wanyoto ategeezezza nti olwaleero nfunye Ofiisi nga Minisita w’Eggwanga avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti nga ndi wamu ne Minisita wange omukulu Gen. Katumba Wamala.

Nneebaza Pulezidenti KagutaMuseveni olw’okulondebwa kuno n’abantu bonna ababadde mu Lugendo luno. Ebintu ebirala bingi ebinene ebigenda okujja,Wanyoto wagambye.

Ate nnye abadde minisita omubeezi owa bakozi Mary Grace Mugasa agambye nti ayozaayoza Gen. Katumba Wamala ne Minisita. Lydia Wanyoto Mutende nga ba Minisita abanjuvu mu minisitule y’abakozi era kati bebali mu ofiisi. Tubaagaliza obuwanguzi nga baweereza Bannayuganda mu mirimu gyabwe emipya.
Bya Mugula Dan

