Abatuuze ku kyalo Mpoma e Mukono bagobye ssentebe wa NRM eyalangiriddwa.

muguladan2024@gmail.com
3 Min Read

30/7/2026

Bagala ebyalangiriddwa bisazibweemu okulonda kuddibwemu

Abatuuze ku kyalo Mpoma ekisangibwa mu muluka gw’e Mpoma mu gombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bawakanyiza ssentebe eyalangiriddwa

Abatuuze ababadde abakambwe ennyo babadde bakulembeddwa Twaha Basajjasubi eyavuganyizza ku bwa ssentebe bw’e Kyalo ekyo ku kkaadi ya NUP bawakanyizza ekikolwa ky’okulangirira Pansiono Sserugo owa NRM ku kisanja eky’okubiri nga bagamba yalangiriddwa mu bukyamu.

Basajjasubi agamba nti vvulugu eyalabikide mu kulonda yatandikidde mu nkalala omwabadde amanya kubanga abakulidemu okulonda obwedda basoma abatali batuuze ate abatuuze abatuufu nebabasibira wabweru wa geeti y’e somero lya GogWell Nursery and Primary School owabadde okulonda .

Ayongedde nti waliwo amanya amalala agasomeddwa ng’abali banyinigo baafa dda ku bayongeddeko okusomba abaana ba masomero abali mu bisulo nebabasimbisa layini nebalonda ekitakirizibwa mu mateeka.mu mbeera eno ab’akakiiko k’e byokulonda bafulumizza ebbaluwa eyimirizza okulonda Kyokka abakuliddemu okulondesa nebagenda mu maaso n’okulondesa era ku saawa 12:00 ez’olwegulo waliwo emmotoka ekika kya Drone eyazze nga ejjudde abaserikale ba magye, aba poliisi nebateeka eyakulembeddemu okulondesa ku muddumu gw’e mmundu nalangirira Ponsiano Sserugo ku buwanguzi ekyabatabudde kubanga abakulira eby’okulonda e Mukono babadde bayimirizza okulonda

Bano bagamba nti mu kifo webalondedde ku ssomero lya Gog Well Nursery and Primary School abakulidemu okulondesa bayolesezza vvulugu mu nkalala omwabadde amanya gabwe nebagaana abatuuze abatuufu abalina okulonda okukakana nga basombye abaana b’amasomero nebalonda

Abatuuze balumirizza ssente Sserugo nga wali omuzibu ennyo atasaanidde kubeera mukulembeze wakyalo kubanga mu kisanja ekiwedde , obukulembeze bwe bwetobeseemu nnyo emivuyo gy’e ttaka ekyavirako neyali minisita omubeezi w’e by’ettaka Sam Mayanja okulagira agibweko sitampu anoonyerezebweko,

Abatuuze bakutte empidde ebiriko obubaka obuwakanya okulondebwa kwa Sserugo nga bagamba bagala ssentebe abantu gwebelondedde sosi owa poliisi n’amagye gwebabasibyeko.

Bawanjagidde akulira akakiiko k’e by’okulonda mu ggwanga omulamuzi Simon Byabakama ayingire mu nsonga zabwe okulonda baddemu , bano era bawanjagidde omubaka w’e kitundu kino Abdallah Kiwanuka amanyiddwa nga Mulimamayuuni ne RDC w’e Mukono Fatuma Ndisaba nabo bayingire mu nsonga zabwe.

Olwakano luno lwabaddemu abantu basatu okuli, Matia Semakula atalina kibiina, Basajjasubi Twaha owa NUP ne Ponsiano Sserugo owa NRM abatuuze gwebawakanya ku .buwanguzi

Share This Article
Leave a Comment