Tulina okulwana ennyo okukomyawo demokulasiya n’okununula eggwanga Uganda-FDC

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

Ekibiina ki FDC kyeweze okugenda mu maaso n’olutalo lwakyo olw’okununula Uganda mu byobufuzi wadde nga kyavuddemu bubi mu kulonda kwa bonna okw’omwaka guno.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ekisangibwa e Najjanankumbi ku Mmande, Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat, agamba nti ekibiina kino kyatandikibwawo kutwala buyinza n’okutereeza ebyasomba ebireteddwa  gavumenti eri mu buyinza okumala emyaka amakumi ana egiyise.

“FDC teyazimbibwa sizoni nnyangu. Twatandikibwawo ddala ku biseera ng’ebyo ebibeerawo mu ggwanga lyaffe. Bannayuganda basaana ekibiina ekinywevu ng’akiyimirira kumazima’’ Amuriat bwe yagambye.

Wadde Amuruat ayogera  ebyo ekibiina ki FDC yawangula ebifo bya palamenti mwenda byokka mu kulonda kwa bonna okwa January 2026 ne bakansala abatonotono mu bukiiko bw’ebitundu okwetoloola eggwanga, agamba nti abo ababaka ba palamenti ku FDC abawangula  bajja kukola amaanyi ag’entiisa okugugumbula ebyetaago bya bannansi.

“ Ababaka ba FDC baalwana ne bawangula ebifo byabwe nga bavuganya n’obuzibu obusukkiridde, obuwanguzi buno, bwe baawangudde ku nkola eyategekebwa okuvaamu ekivaamu kimu kyokka, bukakafu bw’amaanyi g’ekibiina ky’ekibiina n’obwesige abantu baffe bwe batutaddemu.’’ Yannyonnyodde.

Eng. Amuriat era abikudde ekyama nti ekibiina kye kigenda kutwala ababaka ne Bakansala okutendekebwa mu nkola ey’okuyingiza empisa z’ekibiina basobole okuweereza obulungi era mu ngeri ennungi.

Era agambye nti FDC erowooza nti okununula Uganda okuva mu myaka amakumi ana egy’obufuzi bw’omuntu omu tekiyinza kuba pulojekiti ya kibiina kya byabufuzi kimu wabula kirina okuba pulojekiti ey’awamu eri amaanyi gonna aga demokulasiya. N’olwekyo yasabye obumu mu kibiina ebivuganya gavumenti aga demokulasiya.

“ Tutandise okutuukirira mu butongole eri ab’oludda oluvuganya gavumenti n’abantu abagala demokulasiya omuli ebibiina ebyewaddeyo okugugumbula enkyukakyuka mu demokulasiya.’’

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment