Abasuubuzi abakosebwa amataba mu Kampala batabukidde Ssaabaduumizi wa Poliisi ne Ssaabaminisita

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Abasuubuzi abegatira mukibiina ki Federation of uganda traders association FUTA ekikulemberwa John kabanda enkya ya leero babukereza kookolo kukitebe kya police e naguru okugenda okulaga obutali bumativu bwabwe olw’ensimbi ezabawebwa omukulembezze w’egwanga okuba nga tezinabawebwa.

John kabanda akulira ekibiina ki FUTA

Nga bakulembedwamu ssentebe wabwe John kabanda balazze esanyu olwa Ssaabaduumizi wa Poliisi Abassi byakagaba okuyingira munsonga zabwe okulaba nga batuka  kumutendera gwokutula okugonjora ebibade bikyalobede abasuubuzi abakosebwa amataba obukubagizzo bwabwe.

Abasuubuzi mulukiiko

John hn kabanda era agambye kyewuunyisiza nnyo Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga okulaba nga Ssaabaminisita Nabbanja Nabbanja yakandiriiza ensonga z’okuwa ensibmi abasuubuzi n’okwagala okuletta entalo z’okwekalakasa ekita kifananyi ky’egwanga.

Era ategeezezza nga kati w’ebeetegesse okulaba nga kulunaku lwokubiri ssabiti egya bagenda kutula n’ekitongole ki KCCA ,ky’akakiiko abalondoola wamu n’olukiiko lwa FUTA kabanda yagambye nti kirabika nga ekibade kikyabalobede okufuna ensimbi kwekwetegereza ebibinja binno byonna namannya byegawandika oba gakwatangana.

Era asabye abasuubuzi okwewala okuddamu okwekalakaasa olwensonga nti ekitongole kyebyokwerinda kiyingidde munsonga zabwe era y’ensonga lwaki Ssaabaduumizi wa Poliisi Afande Abbas Byakagaba weyawulidde ebyagala okolebwa kwekubayitta.

Share This Article
Leave a Comment