okuttunka ku kifo ky’obwa Ssentebe bwa disitulikiti y’ekikuube NRM eyise abakyagala

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Ekibiina ki Nrm olunaku olwaleero kirangiridde enteekateeka y’okukima empapula ku kifo ky’okujuzza eyali Ssentebe wa disitulikiti e Kikube  peter Banura nga enteekateeka eno yakutandika okukima empapula eno nga etandise olunaku olwaleero yakomekereza enaku zomwezi,mukaga olwo balyoke batandike okuzikomyawo.

James Kinobe binno okubyogeera abadde mulukungana lwabanamawulire oyindide kukakiiko k’ebyokulonda kyadondo  road nagamba nti okukomyawo empapula wekinagwa abanaba besimbyewo bakutula mu disitulikiti yabwe nga bayambibwako akulira ebyokulonda mu district eyo balambikibwe jebanatambulira okwewala entalo mukunonya obuwagizi olwo kulunaku olwa 17 omwezi ogujja akakiko ke NRM k’ebyokulonda kajja kukola nnongoosereza mukitabo ky’abalonzi mu disitulikiti eyo olwa nga 22 basimbe enyiriri abantu okulondako gwebagala era okulonda kuno kwakubeera kubuli kyalo ewalondebwa.

Ono alambise kubuyigirize obwetagisa singa obera wetazze okwesimbawo ku kifo ekyo okubeera nebaluwa ya secondary ya mukaga oba empapula eziraga nti zenkanankana n’obuyigirize obwo ate era nga oli munnauganda era munnakibiina ki NRM era nga toyina kubeera mukoozi mukitongole kya gavumenti kyonna ate era nga oyina okusasula ensimbi mu banka ya centenery erambikidwa nakakadde kamu.

Enteekateeka y’okudamu okulonda kwe kikube kuno kiddiridde peter banura eyali alondedwa okufa era nga enteekateeka y’okulonda kwabona yatongozebwa akakiiko k’ebyokulonda nga kwakubawo omwezi ogujja kulunaku olwe kumi nabiri.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment