Tugenda kukwata bantu abakosesa abaana abatto emirimu egimenya amateeka mu Uganda

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Minisita omubeezi ow’ekikulu ky’abantu,Simon Mulongo akuburiza abagaba emirimo mubitingole ebyenjawulo okukolera awamu okuvumirira ekikolwa kyokozesa abaana abatanabakwetuka.

Ono asinzidde mulukungana lwabanamawulire oluyindide ku Media centre mu Kampala nategezza nti buli muntu asanide okukimanya nti omwana omutto atanatuka myaka gikola obutamuwa mirimo okumukozesa kubanga kizulidwa bangi bafirwa ebiseera byabwe olwokulimbibwa nobusimbi obutono bwemubatimba mukubakozesa nategezza nti era olunaku lwenkya bakukuza olunaku lwokuvumirira ekikolwa ky’okozesa abaana nga gwakuyindira bugadde town council mu mayuge disitulikiti.

Era avumiridde nabaletta abaana kunguddo okusabiriza nagamba baano bakukwatibwa okulaba ekyo nga kikomekerezebwa.

Minisita amaliriza nga agamba nti singa kinno tebakikwasa manyi kyandifuka ekizibu mugwanga nga tekisanidde kubeera wekityo.

Bya Mugula Dan

Share This Article
Leave a Comment