26/6/2026
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Balaam Barugahara, alwanirira ekibiina kya Patriotic League of Uganda (PLU), n’atangaaza ebigambo ku Gen. Muhoozi Kainerugaba, n’okulabula okw’amaanyi eri abakungu ba Gavumenti abalya enguzi mu mboozi ey’akafubo ku ttivvi ya Sanyuka.

Bwabadde ayogera mu mboozi eno, Balaam yagambye nti ku PLU ng’enkola y’obwannakyewa ekwatagana ne kaweefube wa gavumenti okulwanyisa enguzi n’obutakola bulungi mu bakozi ba gavumenti.
“Nga PLU, tetukyalina pulojekiti;kati tulina pulogulaamu eyamba gavumenti okulwanyisa obubbi, obuli bw’enguzi, n’obumenyi bw’amateeka,” bwe yagambye n’agattako nti “tuli kibiina kya bannakyewa ekiwombeefu ekikulemberwa Gen. Muhoozi Kainerugaba.”
Ebigambo bye bizze wakati mu kukubaganya ebirowoozo okugenda mu maaso mu lujjudde ku PLU okweyongera okulabika mu byobufuzi n’okulowoozebwa nti ekwatagana n’abantu abakulu mu gavumenti.
Lipoota emabegako zaalaga okukubaganya ebirowoozo okwetoloola obuyinza bw’emikutu egyekuusa ku Muhoozi mu nsengeka z’ebyobufuzi n’ebyokwerinda naddala ng’okuteebereza ku kusikira kukyagenda mu maaso mu mboozi z’eggwanga.
Ku bigambo ebisaasaanidde ku mikutu gya yintaneeti nti Gen. Muhoozi yennyini y’awandiika ebiwandiiko bye ku X (eyali Twitter), Balaam yasoomoozezza abavumirira okuwa obukakafu.
Bujulizi ki abantu bwe balina nti ye assa tweets ezo era nti account eno yiye? Baleete obukakafu bwa vidiyo,” bwe yagambye.
Yayongedde okuwolereza empisa za Muhoozi n’agamba nti: “Gen. Muhoozi Kainerugaba agondera amateeka, mwetoowaze, wa kisa nnyo, era alina empisa nnyingi. Njagala nnyo kubanga awuliriza era munnaggwanga.”
Muhoozi era akola ng’akulira amagye, mu myaka egiyise azze asikiriza eggwanga lyonna olw’emirimu gy’akola ku mikutu gya yintaneeti n’ebigambo by’ebyobufuzi, ebitera okuvaako okukubaganya ebirowoozo ku kifo ky’abakungu b’amagye ab’oku ntikko mu mpuliziganya y’ebyobufuzi mu lujjudde.
Ng’akyukira ku nsonga z’enfuga, Balaam yawadde okulabula okw’amaanyi eri abakozi ba Gavumenti abalya enguzi, n’agamba nti mu bbanga ttono gavumenti egenda kubakolako b anno.
Tugenda kuyonja enkola eno mu wiiki bbiri. Bw’oba mubba mu gavumenti, beera mwetegefu, ekimala kimala,” bwe yalabudde.
Era yasabye ebitongole ebivunaanyizibwa okukola emirimu egy’amaanyi, n’agattako nti: “Tusaba ekitongole kya Gavumenti ekya kaliisoliiso okunonyereza ku nguzi, nga bagamba nti abakozi ba gavumenti abasoba mu 400 bagenda kukwatibwa era bawereddwa mu wiiki bbiri.”
Balaam era yawolereza olukiiko lwa baminisita ababadde e Kyankwanzi gye buvuddeko, n’agaana ebigambibwa nti bagenda kulya nasaasaanya ssente yamuwi wamusolo. “tewali ssente za muwi wa musolo zaayonoonebwa mu kiseera ky’okuwummula kwa baminisita e Kyankwanzi.”
Minisita era yasiimye Pulezidenti Yoweri Museveni, n’amwogerako alina obumanyirivu, n’agamba nti: “Pulezidenti Museveni ye ‘Mr. Computer’ — encyclopedia era omukulembeze ow’amagezi ennyo.”
Ku nsonga z’omunda mu PLU, yagobye ebigambibwa nti waliwo enkaayana z’obukulembeze n’agamba nti: “omubaka. Kabanda tagobwangako mu PLU; tulina kye tuyita enkyukakyuka mu mirimu egy’enjawulo.”
Bya Mugula Dan

