Ba Ssentebe ba LC 1 e Namugongo Division balabuddwa obutakozesa sitampu mu bumenyi bwa mateeka

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

1/9/2026

Ssentebe wa division y’e Namugongo Moses Haumba arabudde ba Ssentebe ba LC1 obutenyigira mu kibba ttaka n’obumenyi bwa mateeka ku byalo.

Haumba asabye ba Ssentebe look obutakozesa sitampu ya kyalo kugikozesa ddiiru omuli ekibba ttaka nga bakola endagaano ezisoba mu emu ku ttaka n’okubagikozesa mu bumenyi bwa mateeka kubanga ebikolwa ebyo bigya kubatwala mu kkomera e Luzira babasibe

Abakuutidde obutaleeta byabufuzi nga bawereza abantu nga beekwasa nti waliwo abatabalonda,wabula bawereze nga tewali gwebasosodde batwale ebyalo mu maaso.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okulayizza ba Ssentebe b’e byalo 16 ebya kakkasiddwa akakiiko k’ebyokulonda nti ba ssentebe be byalo ebyo balondebwa mu butuufu, wabula ebyalo ebirala 4 okuli Kyaliwajjala A, ne B, Kireka D ne Kasokoso nga bino okulonda kwakudibwamu ebiwezza omuwendo gw’e byalo 20 ebikola division eyo akakiiko k’e by’okulonda kakyetegerezza emisango egyatwalibwayo egyekuusa ku vvulugu eyalabikira mu kulonda okwaliiwo nga 28 July.

Okulayizza ba ssentebe kukuliddwa town Clerk wa division eyo Joan Nalubega nga buli ssentebe alayiziddwa awereddwa sitampu y’e kyakulembera, Nalubega akubirizza ba ssentebe okukozesa obulungi sitampu baleme okugwa mu buzibu obuyinza okubaviirako okusibwa,nabakuuutira okukubiriza abatuuze mu byalo bajjumbire etekateeka za gavumenti naddala ey’okuyonja okw’obuweze okubeerawo nga 29 buli mwezi beeware enddwadde eziva ku bucaafu.

Kyokka ba ssentebe b’e miruka ebiri egikola Namugongo division okuli ogw’e Kyaliwajjala ogwawangulwa munna NRM Hakim Nsubuga n’omuluka gw’e Kireka ogwa wangulwa Brasio Ssekatawa naye owa NRM ababadde balina okulayizibwa ne banabwe aba LC1 , bayimiriziddwa olw’ekiwandiiko ekyavudde mu kakiiko k’e by’okulonda nga kigamba nti akakiiko ensonga z’ekakyetegereza webanamala ba ssentebe b’e miruka nabo bagya kulayizibwa mu mateeka.

Wabula abamu ku ba ssentebe abalondeddwa okuli Kefaazi Yawe Gasuza ssentebe w’e kyalo Naalya Main ategezezza nti agenda kutandikira weyakoma mu kisanja ekiwedde kubanga alina bingi beyasubizza abantu abantu weyali abanoonyamu akalulu.

Ate David Muya Sekiziyivu ssentebe wa Kireka C ate nga mu kisanja kino ekiwedde yabadde kkansala w’e kyalo kino ku Munisipaali y’e Kira agambye agenda kulwanilira omuntu wa bulijjo ng’ayita mu kubasakkira.

Share This Article
Leave a Comment