Abasuubuzi balombojjedde abakulembeze ba NETA ebizibu ebigenda okubagoba mu bizinensi.

muguladan2024@gmail.com
2 Min Read

12 Sept 2026

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya National Entrepreneurs Traders Associations (NETA) Thadeus Nagenda Musoke asabye abasuubuzi bakomye okwelwanyisa basobole okwekulakulanya.

Musoke ategezezza nti wadde abasuubuzi balina ebiibina eby’enjawulo mwebasiziira okuwerereza , naye balina okubeera n’eddoboozi limu mwebasobola okuyita okulwanyisa ebizibu ebingi ebibasomooza ebyagala okubagoba mu bizinensi.

Vidiyo

Bino Musoke abyogeredde mu lukiiko lw’abasuubuzi ku kizimbe ky’omugagga Drake Lubega ekya Totala ekisangibwa e Nabugabo mu Kampala , abasuubuzi mwebasinzidde nebamulopra omuli, abagagga abasasuza Kabuyonjo, Kasasiro ,ng’alemererwa okubisasula aweebwa ebibonerezo.

Akulira NETA Thadeus Nagenda Musoke

Wabula, Musoke abaanukudde nti ekibiina kya, NETA batandisewo enkola gyebatuumye NETA ku ground mwebagenda okuyita okutuuka ku musuubuzi wa wansi okutegeera ebizibu ebibaruma bamanye engeri gyebanabigonjoola nga bakolera wamu n’ebitongole ebivunanyizibwa omuli KCCA , URA n’ebitongole bya gavumenti ebirala ebikola ku nsonga z’abasuubuzi.

Olukikko lwetabiddwako abakulembeze b’e byalo omuli Adam Kyazze abakungu okuva mu URA,KCCA nabalala ,wabula abakulembeze ba NETA bawadde abasuubuzi ensuubi nti ebizibu byabwe bagenda kubitwala b’ekikwatako bigonjoolwe.

Kyokka wabaddewo olutalo wakati w’ekibiina kya NETA n’ebiwayi ebirala ekikulembera abasuubuzi nga ekiwayi ekimu kibadde kyagala okutekawo embeera kiremese olukikko okubaawo, nga kyekwasa nti abakulembeze ba NETA bagenda kulemesa etekateeka ya ssente obuwumbi 20 gavumenti zesubira okuwa eri abasuubuzi abaakosebwa amataba agava ku nkuba eyatonya nga 31 October omwaka oguwedde.

Kyokka Musoke era asabye abakulembeze b’e biina bya basuubuzi okukomya okwelwana kubanga abasuubuzi bebakulembera bebafiirwa singa entalo zisigala zeeyongera mu bizinensi.

Share This Article
Leave a Comment