9/7/2026
Alipoota eno eraga Pulojekiti y’Oluguudo oluva e Busega okutuuka e Mpigi nga yemu ku bitundu bya Pulogulaamu y’Oluguudo olugenda okugatta ebitundu nga Wakiso, Kampala okuwona akalipangano k’ebidduka mu kibuga, eno yateekebwawo okutumbula entambula wakati Uganda ne Rwanda ’amawanga gombi era nga eteereddwamu ensimbi Bbanka ya Afirika ey’Enkulaakulana (African Development Bank – AfDB).

Okusinziira ku Pulojekiti eno erimu okuzimba oluguudo olw’owamu n’obuweereza bw’abakugu obw’okwekenneenya n’okuddamu okukola dizayini, awamu n’okulabirira emirimu gy’okuzimba.

Lipooti eno etegekeddwa okuwa ebyafaayo ebituufu ku mbeera ya pulojekiti mu kiseera obuvunaanyizibwa bwe bwava mu Kitongole ky’Enguudo mu uganda (UNRA) ne busindikibwa eri Minisitule y’Emirimu n’Entambula (MoWT) mu nkola ya Rationalisation of Government Agencies and Public Expenditure (RAPEX).Era lipooti eno eraga emitendera emikulu egy’eby’endagaano n’enkulaakulana ya pulojekiti egyali gimaze okutuuukibwako nga 23 Desemba 2024 tannatuuka,awamu n’embeera ya pulojekiti Minisitule gye yasikira.

Enteekateeka y’akampuni ya Rapex nga tannatandika luguudo nga23 Desemba 2024,Pulojekiti y’Oluguudo lwa Busega–Mpigi Expressway yali etwalibwa Kitongole ky’Enguudo mu Uganda (UNRA).Mu kiseera ekyo nga UNRA tenagatibwa na Minisitule y’ebyetambula mu kiseera ekyo UNRA ye yali obuyinza obw’endagaano ku ndagaano y’emirimu gy’okuzimba oluguudo n’endagaano y’obuweereza bw’abakugu.

Allen Kagina nga yeyali akulira UNRA ye yali alina obuyinza bwonna obukola kundagaano zombi, UNRA yakolanga wansi w’enteekateeka yaayo ey’okufuga n’okuvunaanyizibwa, nga erimu Akakiiko k’Abaddukanya (Board of Directors), saako akulira ekitongolekino nga yeyali Nankulu mubiseera ebyo, n’Omubalirizi w’Ebitabo.

Minisitule y’Entambula, ng’eyita mu muwandiisi Omukulu (Permanent Secretary) era Omubalirizi w’Ebitabo, teyali kitundu ku ndagaano za pulojekiti era teyaliiko buyinza bwonna ku ndagaano zayo.
N’olwekyo, ebyasalibwawo byonna ku ndagaano, okukkiriza dizayini n’okuteesa ku ngeri pulojekiti gye yateekebwamu mu nkola nga 23 Desemba 2024 tannatuuka, byakolebwa wansi w’obuyinza n’enteekateeka ya UNRA nga yali ekulemberamu Nankulu wayo Kagina

Nga 19 Desemba 2018, UNRA yassa omukono ku Ndagaano y’Obuweereza bw’Abakugu (Consultancy Services Contract) ne Dohwa Engineering Co. Ltd., nga bakolera awamu ne IDCG Engineering Group, era nga bakolagana ne TB3 Global Ltd., okukola omulimu gw’okuddamu okwekenneenya dizayini n’okulabirira emirimu gy’okuzimba.
Nga 18 Juuni 2019, UNRA yassa omukono ku Ndagaano y’Emirimu gy’Okuzimba (Civil Works Contract) ne China Civil Engineering Construction Corporation, nga bakolera awamu ne China Railway 19 Bureau Group Co. Ltd., okuzimba oluguudo lwa Busega–Mpigi Expressway.

Endagaano zombi zassibwako omukono ku Iwa UNRA Omuduumizi Omukulu, eyalina obuyinza bwa Kasitoma (Client) ne Mukozesa (Employer) mu ndagaano ezo.
Oluvannyuma lw’okussa omukono ku Ndagaano y’Obuweereza bw’Abakugu, UNRA yafulumya Ebbaluwa Etandika Omulimu (Notice to Commence) nga ya 22 Janwali 2019, n’etegeeza nti 23 Janwali 2019 lwe lunaku olutongole emirimu gy’okwekenneenya dizayini n’okulabirira okuzimba lwe gyatandika.
Oluvannyuma lw’ekyo, abakugu baatandika emirimu gyabwe nga bwe kyali kirambikiddwa mu ndagaano.Okutegeeza ku Ntereeza Empya ey’Oluguudo (Road Alignment/Route)
Oluvannyuma lw’olukiiko olusooka olwa pulojekiti olwatuula nga 10 Julayi 2019, UNRA yategeeza Omuzimbi ku ntereeza empya ey’ekkubo ly’oluguudo, ng’eyita mu bbaluwa eya 10 Julayi 2019.
Ekigendererwa ky’okutegeeza kuno kwali kuwa Omuzimbi amakulu ku ntereeza empya asobole okwetegekera okutandika emirimu, okufuna ebyetaagisa n’okuteekawo ekifo ky’omulimu, nga bakyali balindiridde ebifaananyi eby’obuyinginiya ebijjuvu okuva eri Omukugu alabirira pulojekiti, eyali akola ng’Injiniya wa ndagaano.
Omugattako ebbaluwa eyategeeza ku Ntereeza Empya ey’Oluguudo.
Oluvannyuma lw’okutegeeza ku ntereeza empya ey’oluguudo, Omukugu eyali avunaanyizibwa ku kwekenneenya dizayini n’okulabirira emirimu gy’okuzimba yakola okwekenneenya okw’amaanyi n’okuddamu okutereeza dizayini ya pulojekiti okusobola okugituukanya n’ebyetaago by’ekkubo eryali lirongoosezza.
Omulimu guno gwalimu okuteekateeka dizayini empya ez’obuyinginiya, okuddamu okubalirira obungi bw’emirimu, okuddamu okwekenneenya amatandabizo, ebizimbe n’ebikozesebwa ebikwatagana nabyo, awamu n’okusalawo ku bungi n’obunene bw’emirimu egyali egyetaagisa okussa mu nkola pulojekiti ng’egoberera ntereeza empya.
Enkola eno yaggwerako nga waliwo okuteekateeka n’okuleeta Lipooti Esembayo ey’Okuddamu Okukola Dizayini (Final Design Update Report), eyalimu ntereeza empya n’enkyukakyuka zonna ezaakolebwa ku dizayini ya pulojekiti n’obunene bw’emirimu.
Alipoota eno oluvannyuma lw’okwekenneenya ebiwandiiko ebyaleetebwa Omukugu n’okuddamu okwetegereza ebyayogerwako mu kiseera ky’okubikebera, Omuduumizi Omukulu wa UNRA yafulumya ebbaluwa ey’Obutawakanya (No- Objection) nga 8 Okitobba 2021, n’akkiriza mu butongole okumaliriza dizayini .
Ebbaluwa eno yakakasa nti UNRA yali ekkirizza ntereeza empya ey’oluguudo ne dizayini empya eyategekebwa Omukugu okusobola okussa mu nkola pulojekiti. Omuduumizi Omukulu era yalagira Omukugu alabirira emirimu okutandika enkola y’okufuna ekirowoozo ky’Omuzimbi ku ngeri dizayini empya n’obunene bw’emirimu gye byanditeekeddwa mu nkola, nga bwe kirambikiddwa mu ndagaano.
Oluvannyuma lw’okukkiriza okumaliriza dizayini , eyali akulira ekitongole ki UNRA yafulumya ebbaluwa endala ey’okukkiriza nga 8 Febwali 2022, ng’awa Omukugu alabirira emirimu obuyinza okufulumya ebiragiro n’ebifaananyi
Okukkiriza kuno kwali kukkiriza nti kyali kyetaagisa okutandika emirimu awatali kulwa nnyo, ate nga bwe kwayambanga okukendeeza ku kulwa n’emisango oba okusaba okusasulwa okwandiweza okuva ku kulwa okufulumya ebiragiro n’ebifaananyi.
Oluvannyuma lw’okufuna olukusa luno, Omukugu alabirira emirimu yatandika okufulumya ebiragiro n’ebifaananyi eby’obuyinginiya ebyetaagisa okuteeka mu nkola ntereeza empya ne dizayini eyakkiriziddwa. Omuzimbi naye n’agenda mu maaso n’emirimu ng’agoberera dizayini empya, ate n’enkola y’okugula ettaka nayo n’egoberera ntereeza empya.
N’olwekyo, okukkiriza kuno kwe kwatandikawo mu butongole okussa mu nkola ntereeza empya n’obunene bw’emirimu obwapya obwava mu kuddamu okutereeza dizayini.
Oluvannyuma lw’okutandika okussa mu nkola dizayini empya, kyalabika nti obungi bw’emirimu n’ebyetaagisa byayo byeyongera nnyo, naddala ku mirimu gy’okutereeza ettaka, emikutu gy’amazzi, ebibanda n’ebizimbe ebirala.
Omukugu alabirira emirimu yakola okwekenneenya ku bunene bw’emirimu obwapya era n’ateekateeka embalirira eyasooka ey’ensimbi ezaali zeetaagisa okwongerwako okusobola okussa mu nkola dizayini empya.
Omuduumizi Omukulu wa UNRA yategeeza ensonga eno eri Minisitule y’Ebyensimbi, Okuteekateeka n’Enkulaakulana y’Ebyenfuna mu bbaluwa eya 07 Julayi 2023, ng’asaba Gavumenti okulowooza ku kyetaago ky’okwongera ensimbi ku pulojekiti olw’obunene bw’emirimu obwali bweyongedde.

