Abajaasi b’eggye lya UPDF bana basimbiddwa mu Kkooti y’amagye e Makindye

muguladan2024@gmail.com
1 Min Read

Abaserikale b’eggye lya UPDF 4 okuli Brig. Gen James Barigye Ruheesi, Col. David Ocitti Kidega, Maj Innocent Kikongo Mugumya, ne Capt. Kenneth Labwon Kinyera basimbiddwa mu kkooti y’amagye e Makindye ekulemberwa Brig. Gen. Richard Tukachungurwa  nebaggulwako omusango gw’okukozesa obubi amafuta ga UPDF agawera 27,000 agaali ag’okukola ebikwekweto nebagazza mu byabwe. 

Kigambibwa nti omusango guno baaguzza wakati wa July wa 2022 ne December wa 2023 mu bitundu by’e Kampala ne Jinja.

Bano emisango bagyegaanye era Ssentebe wa kkooti eno omusango n’agwongezaayo okutuusa nga 29 omwezi ogujja.

Bya Skynewsug

Share This Article
Leave a Comment