Aba ttakisi e Kyaliwajjala basisinkanye okumalawo entalo ku siteegi.
10/6/2026
BADDEREEVA ba ttakisi ku siteegi y’e Kyaliwajjala Namugongo mu Munisipaali y’e Kira basisinkanye nebeegobako ekibinja kya ba ttakisi ekiludde nga kibatulugunya n’okubba ssente zabwe.

Ensisinakano ebadde ku paradise Guest House e Namugongo nga ekubiriziddwa Abey Mukiibi amyuka RDC w’e Kira ng’ayambibwako Izaaya Mwesigwa naye akola mu ofiisi ya RDC nga kidiridde entalo ezirudde ku siteegi eyo ng’a ekiwayi kya Morgan Kalungi eyaliko ssentebe wa siteegi kirwanagana n’olukiiko olupya olukulemberwa Robert Mwesigwa amanyiddwa nga Bwete eziviriddeko aba ttakisi okufuna ebisago eby’oluberera ku mibiri ng’abamu tebakyasobola kwekolera n’okwebezaawo

Mu lukikko luno aba ttakisi balumirizza ekibinja kya Kalungi ne banne okuli Ssemugenyi Dauda ne Mayambala okubalumba ku siteegi nebabakolako effujjo omuli okubakuba olw’okuba bagaana okubakirizaamu embeera eno aba ttakisi nebasalawo okuddukira ewa RDC w’e Kira Naboth Kagoro okubataasa ku basajja abagala okubatta
Mu kwogera ko eri aba ttakisi, RDC Mukiibi asabye aba ttakisi okukomya okulwanagana , wabula bakume emirembe , bakwatagane nekiwayi kya Kalungi ekibalwanyisa, wabula kino aba ttakisi bakigaanye nga bagamba nti tebasobola kukolagana n’ababbi ababba ssente ezisoba mu bukadde 20,000,000 saako okubatulunya, kino kiwalirizza RDC okukaanya nebegobako ekibinja kya Kalungi ku siteegi nekigendererwa eky’okukuuma emirembe ku siteegi.

Ssentebe wa siteegi eno Robert Mwesigwa amanyiddwa nga Bwete ategezezza nti baaludde nga bogerezeganya ne kiwayi ekibalwanyisa balabe engeri gyebasobola okukolera awamu naye abamu baagana okukwataga, ayongeddeko nti ekiwayi ekyo kyaagaana n’okwetaba mu kulonda kwa siteegi okwetegekebwa aba ttakisi nebamulonda nga ssentebe wabwe omujjuvu, kyokka okulonda wekwaggwa ekiwayi ekyo kyaagaana okukiriziganya nebyaava mu kulonda nebasalawo okuyekera olukikko lwe ekyakomezawo okukubagana ku siteegi ekyanyizizza kwekusalawo okubegoberako ddala babaviire ku siteegi.
Ate Ssabawandiisi wa siteegi Phillipe Kirunda ategezezza baakaanyiza okukomya entalo ku siteegi nga beegobako ekiwayi kya Kalungi ne banne abaludde nga babatulunya ,era oluvannyuma lwa olukikko emirembe gigenda kukomawo ku siteegi.
Bya Skynewsug.com

