Omubaka omulonde wa Kalungu East, Yusuf Kiruluuta Nkeretanyi alabiseeko mu kkooti ya Buganda Road Chief Magistrate’s Court ku misango gy’okubba kateni ezibalirirwamu obuwumbi busatu n’obukadde 700 ez’omusuubuzi Hajj Sulaiman Lwabuuka.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti emisango gino gyaliwo wakati wa 2018 ne January 2022. Lwabuuka bwe yali alabiseeko mu kkooti omulundi ogwokubiri, yawa obujulizi nti omuwawaabirwa abadde atera okugenda mu maka ge era nga kigambibwa nti yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne mukyala we, gy’agamba nti oluvannyuma yakozesebwa mu bubbi obugambibwa nti bwamubba. Kkooti yayongedde okuwulira nti ebimu ku bintu ebibbe kigambibwa nti byazuuliddwa mu dduuka eririna akakwate n’omuwawaabirwa.
Bya Skynewsug.com

